
Ku Lwokusatu olwa Vvu tutandika obudde obw’Ekisiibo ekikristu. Buno budde bwa lusirika olw’eddiini okumala ennaku amakumi ana (40). Ekigendererwa ky’obudde buno kya mirundi ebiri: abalonde bateekebwateekebwa basobole okufuna amasakramentu asatu agasookerwako (Batismu, Confirmatio ne Ukaristia) bafuuke abakristu ku Lwomukaaga Olutukuvu (Easter Vigil). Eky’okubiri, eri ababatize ffenna bubeera budde bwa kuzza buggya okukkiriza (faith) n’ebiragaano bya Batismu mu bulamu bwaffe. Ekyo tukikola nga tuyita naddala mu kwegayirira, okuwuliriza obulungi ekigambo kya Katonda n’okukyebuulirirako, okwenenya ebibi byaffe, budde bwa kutabagana ne Katonda ne bantu bannaffe, okusiiba, n’okukola ebikolwa eby’ekisa. Mu budde buno naffe tufaananako Kristu lwe yamala ennaku amakumi ana (40) mu ddungu nga yegayirira n’okusiiba.
Ekisiibo ssi kkatala (obligation or church law). Wabula kitwale nga ekyonziira ky’okola olw’okwagala ennyo Katonda nga oddaabiriza olw’ebibi byo n’eby’abantu abalala.
Ssaabasumba Paulo Ssemogerere
Mu kisiibo, obudde bw’omala ne Katonda bukulu nnyo. Akasirise mu ssaala katuwa omwaganya okuwulira eddoboozi lya Katonda n’osobola okukola ky’ayagala. Tufuge oba tuddirize ku ebyo ebiyinza okutataaganya amatu gaffe ne tutawuliriza bulungi ddoboozi lya Katonda ayogera gye tuli mu budde buno.
Abakristu olugendo luno tulutambulire wamu
Olugendo luno elw’ennaku ana, tolutambula wekka. Ne mu ddungu, Kristu yalina Bamalayika okumuyamba. Naawe wetaaga bakristu banno, ekibiina ky’abassa ekimu, akabondo, akatabi) okukukwatirako okuyita obulungi mu Kisiibo kino. Abakristu olugendo luno tulutambulire wamu. Twetabe mu mikolo Klezia gy’etutuma okukola, okugeza ekkubo ly’omusalaba; tukole ebikolwa eby’ekisa, tukungaanye obuyambi okudduukirira abantu abali mu bwetaavu naddala ababundabunda.

Mu bubaka bw’Ekisiibo Paapa Leo XIV bw’atuwandiikidde atugamba nti Ekisiibo budde bwa kwezza buggya nga tuwuliriza n’okusiiba (listening and fasting). Tuwulirize ekigambo kya Katonda tusobole okutegeera ky’atugamba. Tusiibe n’ebigendererwa ebituufu era ebirimu okwagala. Okusiiba kubeeremu okwewala ebigambo n’ebikolwa ebikosa bantu bannaffe. Mu budde buno tutambule ne Yezu mu lugendo olwamutuusa e Yeruzalemu gye yatuukiriza ekyamagero ky’okubonaabona, okufa n’okuzuukira kwe. Ekisiibo ky’omwaka guno kitusanze tuli mu mbeera ki? Ekisiibo kituuse nga twakamala okulonda abakulembeze ku mitendera gyonna okuva ku President okutuuka ku bakulembeze abasookerwako wansi. Embeera y’okweteekateeka okulonda, okulonda kwennyini n’oluvannyuma lw’okulonda ebaddemu ebintu ebirungi n’ebibi. Obudde bw’ekisiibo kino tubukozese okwezza obuggya.
Amazima galibafuula ab’eddembe: Yoanna 8:31-32
Nga twetegekera okulonda, ffenna Abepiskoopi ba Uganda, mu March 2025 twafulumya ebbaluwa (Pastoral Letter) erina omutwe ogugamba nti “Amazima galibafuula ab’eddembe” (The Truth Will Set You Free) Yoanna 8:31-32. Mu bingi bye twawandiika mu bbaluwa eyo, twasaba wabeewo okusomesa abantu ku bikwata ku kulonda. Twali tumaze okukizuula nti abalonzi bangi baali tebamanyi bulungi buvunanyizibwa bwabwe ku byokulonda, waaliwo abaweddemu essuubi, abalala nga baterebuse nti akalulu kaabwe tekaalina mugaso olw’okuba abakulembeze abamu baali beekolera bye baagala. Twalaba obutali bumativu mu kusomesa abantu anti essira lyali liteekebwa ku kukuba kalulu kyokka, sso nga democrasia munene okusinga awo.
Mu bingi bye twawandiika mu bbaluwa eyo, twasaba wabeewo okusomesa abantu ku bikwata ku kulonda……… waaliwo abaweddemu essuubi, abalala nga baterebuse nti akalulu kaabwe tekaalina mugaso olw’okuba abakulembeze abamu baali beekolera bye baagala.
Ssabasuumba Paulo Ssemogerere
Mu bbaluwa y’emu eyo, twalaga engeri ekisaawe ky’okulonda bwe kyali tekyenkanankana eri abaali besimbawo (candidates), ng’abamu baali baweebwa enkizo (privileges) nnyingi okusinga abalala. Twayogera ku bumenyi bw’amateeka obwali bugenda mu maaso wamu n’okuwoolera eggwanga, ebitongole ebikuuma ddembe nga bikozesa amaanyi agasukkiridde eri abesimbyewo abamu n’oluusi nga babatusaako obuvune ku mibiri gyabwe. Mu bubaka bwaffe obw’Amazaalibwa ga Mukama waffe Yezu Kristu (December 2025) twakubiriza abalonzi okusalawo obulungi mu kulonda baleme kugulibwa ssente oba ebintu. Twagamba nti wadde campaigns zaali zitandise bulungi, ekyennaku zaatandika okwononeka. Abantu abamu baakwatibwa ebitongole ebikuuma ddembe n’abalala ne basibibwa mu makomera. Era twayogera ku butali bumativu eri abamu abaali besimbyewo baaziyizibwanga okukuba enkiiko (campaigns) mu bifo ebimu gye baalinga bakkiriziddwa okukunganira.

Twawunzika nga tusaba bonna abavunanyizibwa ku byokulonda, bazannye bulungi ekifo kyabwe, buli munna-Uganda eddembe lye lissibwemu ekitiibwa, awatali kusosola kwonna. Twasaba akakiiko k’ebyokulonda kakole omulimo gwako bulungi era n’abebyokwerinda bakole ku bibakwatako ebyokukuuma abantu n’ebintu byabwe era beewale ebikolwa eby’okutulugunya abantu, ate abo ababikola bakangavvulwe ng’etteeka bwe ligamba. Twamaliriza obubaka bwaffe obwo nga tusaba bannabyabufuzi obutakuma muliro mu balonzi, n’abalonzi ne tubasaba bakuume emirembe basobole okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okulonda.
Twasabira Banna-Uganda okunyweza obumu
Okulonda bwe kwali kunatera okutuuka, twafulumya essaala ey’okusoma buli lunaku okulonda kugende bulungi nga tekuliimu buvuyo, kuyigganyizibwa, kutulugunyizibwa, yadde okuyiwa omusaayi. Twasabira akakiiko k’ebyokulonda kakole bulungi omulimo gwako mu bwenkanya, amazima, n’obwesimbu. Twasabira Banna-Uganda okunyweza obumu, okulonda kuleme kutwawukanya. Twasabidde eggwanga lyaffe, nga tumaze okulonda tubeere bumu nga Motto yaffe bw’egamba nti “Ku lwa Katonda n’ensi yange”.
Ekyennaku, bangi eddoboozi lyaffe tebaaliwulirizza anti ffena tulabye obuvuyo obubaddewo okuva mu kulonda, okusibwa kwa bangi era ekyasingira ddala okwennyamiza kwe kuba nti baganda baffe ne bannyinaffe abamu baalusuulamu akaba.
- Kye tuva twagala okukozesa obudde buno okukubiriza batuuze banaffe okukebera emitima gyaffe, buli omu yenenye era adde eri Omukama nga obudde bw’Ekisiibo bwe butusaba. ”
Ebigambo bya Yoanna Batista ebyakulembera okuyigiriza kwa Yezu bakwata ku bantu bangi. Yoanna yayigirizanga abantu okweteekateeka obulungi nga benenya ebibi byabwe balyoke babatizibwe (Luka 3:1-14). Ebibiina by’abantu byamubuza “Awo ffe tukole ki”? Okugeza abaserikale nabo bamubuuza “Naffe tukole ki”? Yabaddamu nti “Temulyazaamanyanga muntu n’omu era temuwaayiriza, mubeere bamativu n’empeera yammwe” (Lukka 3:14). Buli muntu yebuuze ekibuuzo ekyo nti kati nkole ki, okusinziira ku mbeera gye weyisa ne by’okola banno. Nga bwe kyali mu budde bwa Yoanna Batista, wenenye, saba Omukama akusonyiwe, naawe wekube mu kifuba odde gy’ali.
Okusiigibwa evvu n’akabonero k’omusaalaba mu kyenyi kyo guleme kubeera mukolo bukolo wabula kabeere akabonero ak’okokyusa okuva mu bikolwa ebibi by’obadde okola, weyise bulungi kati, wezze buggya.
Be Hope Bearers Today.
Omuntu akoseddwa oba atuusiddwako embeera embi okuva eri muntu munno, tukusaasira era ne tukusabira eri Katonda akussuuse okuva mu buzibu obwo. Naawe osabibwa okukola nga Yezu Kristu osonyiwe. Mu kusonyiwa mwe muva eddembe eri eyakosebwa ate n’eri eggwanga lyonna okutwalira awamu. Tuyige okusonyiwagana okuviira ddala mu mutima. Nga Kitaffe ali mu ggulu bw’atusonyiwa, naffe bwe tukubirizibwa okusonyiwa abantu abatukola obubi.
Banna-Uganda tukozese obudde bw’Ekisiibo okufuula ensi yaffe eno ebeere ekifo ekyesiimisa okubeeramu. Buli omu alwanyise amayisa ago agaleetedde ensi yaffe okuddirira mu bintu bingi. Webuuze: kibi ki ekisinga okuntawaanya ne kinnemesa okukola Katonda ky’ayagala? Wetegereze enneyisa yo, wejjeemu ebikyamu by’okola. Wesabire mu budde buno Omukama akuwe enneema wezze buggya okole ebyo ebinyweza okukkiriza n’okukulaakulanya ensi yaffe okugenda mu maaso. Beera omukutu oguleeta obwenkanya n’eddembe mu nsi.
Mbaagaliza ekisiibo ekirungi era n’okuyingira obulungi mu kyamagero ky’Amazuukira ga Mukama waffe Yezu Kristu.
TWEZZA BUGGYA NGA TUWULIRIZA N’OKUSIIBA: SSAABASUMBA PAULO SSEMOGERERE
— Social Communications Kampala Archdiocese


